MINISITA wa gavumenti z'ebitundu Balaam Barugahara asazeeko Palamenti y'Abanywi b'Amalwa mu kabuga k'e Bweyale mu disitulikiti y'e Kiryandongo okubasomera ekiragiro kye yayisa ku banywa omwenge nga tezinnawera ssaawa mwenda ez'emisana.
Abanywi Balaam abagambye nti ku wiikendi okunywa mu budde bwabwe naye ennaku endala bagende bakole nga teri alina kunywa nga tezinnawera ssaawa 9:00 ez'akawungeezi.
E Kiryandongo abanywi b'Amalwa basanyukidde Minisita Balaam okubannyonnyola ekiragiro era ne bakiwagira ne bategeeza nti omuntu tasaana kunywa mwenge nga tannakola kyokka abakola emirimo gy'akawungeezi ne bamusaba abakkirize banywenga emisana.