EMPINGU zirumye ku bayinginiya ba disitulikiti y'e Moyo, minisita Balaam Barugahara bw'alagidde aba State House Anti-Corruption Unit okubanoonyerezako ku bigambibwa nti baliko kye bamanyi ku nguzi evaako enguudo mu kitundu okukolebwa gadibengalye.

Minisita Balaam bwe yabadde ayogerako eri abatuuze n'abakulembeze mu lukung'aana olwakubiddwa e Moyo.
Abalala abaakwatiddwa kuliko akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Moyo, Mali Micheal nga minisita Balaam agamba nti alina okunnyonnyola ku bigambibwa nti agamu ku masomero ga gavumenti e Moyo galimu abasomesa ab'empewo abafuna musaala gwa gavumenti n'agamu agasasuza abayizi ab'empewo kyokka ng’ono byonna agamba tabimanyiiko!
N’akulira ofiisi eyingiza abakozi ku disitulikiti y’emu, Madrara Bosco atwaliddwa naye annyonnyole ku bigambibwa nti waliwo abasawo abaakyusibwa kyokka nga bakyafuna omusaala mu malwaliro gye baava byonna n'agamba tabimanyiiko.