Amawulire

Omukungu wa URA akwatiddwa ku by'okuggya enguzi ya bukadde 223 ku musuubuzi

OMUKUNGU w’ekitongole ky’ebyomusolo ekya Uganda Revenue Authority agambibwa okuggya enguzi ya bukadde 223 okuva ku musuubuzi w’omu Kampala akwatiddwa.

Omukungu wa URA akwatiddwa ku by'okuggya enguzi ya bukadde 223 ku musuubuzi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUKUNGU w’ekitongole ky’ebyomusolo ekya Uganda Revenue Authority agambibwa okuggya enguzi ya bukadde 223 okuva ku musuubuzi w’omu Kampala akwatiddwa.

 

Geoffrey Ssozi, maneja avunaanyizibwa ku byamuguzi ebiyingizibwa n’okufulumizibwa eggwanga ye yakwatiddwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga kigambibwa nti yaziggya ku musuubuzi w’ekirabo ky’emmere eky’amaanyi mu Kampala.

 

Amyuka omwogezi wa URA, Robert Kalumba akakasizza okukwatibwa kwa Ssozi ng’asinziira mu lukung’aana lwa bannamawulire mw’ategerezza nti zino zaali zaakuyamba musuubuzi ono okulaba nga bamukenderezza ku musolo ogwali gumubangibwa.

 

Kalumba agambye nti oluvannyuma lw’okutemezebwa omuntu basitukiramu ne batandika okulinnya Ssozi akagere era nga yasooka kusaba bukadde bwa ddoola 100,000, mu za Uganda bwe  371,062,853 wabula oluvannyuma lw’enteesaganya bamalira ku ddoola 60,000 bwe bukadde 223,252,920 eza Uganda.

 

Yayongeddeko nti okukwatibwa kwa Ssozi kulaga kaweefube n’amaanyi akulira ekitongole kya URA John R. Musinguzi gw’azze ayogerako mu kulwanyisa enguzi.

 

‘’Olutalo lw’okulwanyisa enguzi mu kitongole tulongeddemu amaanyi era tumaliridde okugirinnya ku nfeete.Tusaba abantu bonna okututemyako nga balabye omukozi yenna eyeenyigira mu muze guno nga naffe bwe tukola ekyetaagisa okuzibikira emiwaatwa gyonna abali b’enguzi gye bakozesa,” Musinguzi bwe yategeezezza.

 

Kalumba ayongeddeko nti n’omukungu avunaanyizibwa ku by’okulondoola ebintu ebiyingizibwa mu ggwanga (Clearing Agent) agambibwa okwenyigira mu bubbi buno yakwatiddwa okubayambako okuzuula abalala abagambibwa okwenyigira mu bubbi buno.

 

Mu kiseera kino bannamateeka baffe bali mu kuteekateeka mpapula n’ebizibiti bya ssente ezigambibwa okukwatibwa ne Ssozi ebigenda okutwalibwa mu kkooti ng’obujulizi.

 

Ekitongole kya URA kyongera okuvumirira ebikolwa by’obuli bwenguzi, era kisaba abantu bonna abalina amawulire agakwata ku bikolwa bino okubatemyako nga bayita ku nnamba 0800257700, etali yaakusasulira.

Tags:
Amawulire
Bukadde 233
Kukwata
Musuubuzi
Bugagga