Amawulire

Myco Chris atabukidde aboogera ku ssezaala we omugenzi Alex Mukulu.

Agambye nti wakati mu kukungubagira omugenzi Alex Mukulu buli omu ky’asanga ky’ayogera ekintu ekitali kirungi. Ono nga kati musumba, avuddeyo n’ekiwandiiko ekiwanvu ky’atadde ku mutimbagano nga kyambalira abali mu kwogera samwa samwa.

Myco Chris atabukidde aboogera ku ssezaala we omugenzi Alex Mukulu.
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Myco Chris atabukidde aboogera ku ssezaala we omugenzi Alex Mukulu.

Agambye nti wakati mu kukungubagira omugenzi Alex Mukulu buli omu ky’asanga ky’ayogera ekintu ekitali kirungi. Ono nga kati musumba, avuddeyo n’ekiwandiiko ekiwanvu ky’atadde ku mutimbagano nga kyambalira abali mu kwogera samwa samwa.

Chris (asooka ku kkono) ne mukyala we, amuddiridde bwe baabadde ku national theatre mu kukungubaga

Chris (asooka ku kkono) ne mukyala we, amuddiridde bwe baabadde ku national theatre mu kukungubaga

Omanyi Gwendolyn Mukulu omu ku bawala b’omugenzi Alex Mukulu alina enkolagana ey'amaanyi n’omuyimbi ono era bombi bawangaalira Bungereza. 

Myco agamba abantu bandibawaddemu akaseera basobole okukungubagira omwagalwa waabwe okusinga okwogera ebitalina ebigere n’amagulu. 

‘Lwaki abantu mu kaseera nga kano we balina okubeera n’ekisa n’okwogerera ebirungi ku mugenzi ate lwe basinga okukola ebitagya?’ Myco yeebuzizza mu kiwandiiko kino. 

Era yagenze mu maaso n’asaba buli alina ekibi ky’amanyi ku abadde ssezaala we akisirikire wabula amusabire emirembe gy’alaze.

Tags:
Myco chris
Mukulu Alex
Kitalo

Emboozi Ezifanagana