Poliisi e Lwengo eri mu kuyigga Muzafaru Habaasa 27 agambibwa okusangibwa n'ebitundu by'ennyama y'omuntu .

Ebimu ku bitundu by'omuntu
Kitegeezeddwa nti mukwaza ekisawo, basanzeemu akawanga n'omukono era mu kwaza e nnyumba ne basangamu omukono oguweddeko ennyama, amagumba g'omuntu amookye n'ennyama endala nga njokye.
Mu nnyumba musangiddwamu omukono okuli enjala ensiige, n'ebiviiri nga kisuubirwa nti ennyama eyo yamukazi.

Ennyumba omwasangiddwa amatooke omookye n'ebitundu by'omuntu
Omwogezi wa poliisi e Masaka Twaha Kasirye, agambye nti mu nyumba musangiddwamu amatooke omookye era Habaasa adduse bamuyigga ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.