Amawulire

Omwala ogugaziye ne gufuuka akattiro e Ssemuto kusattizza abaayo

ABATUUZE ku kyalo Healthy Center zzooni ekisangibwa mu Ssemuto Town kkanso mu distulikiti y’e Nakaseke bavuddeyo ne beemulugunya ku mwala ogubafuukidde ekizibu mu kitundu kyabwe.

Omwala ogugaziye ne gufuuka akattiro e Ssemuto kusattizza abaayo
By: Wasswa Ssentongo, Journalist @New Vision

ABATUUZE ku kyalo Healthy Center zzooni ekisangibwa mu Ssemuto Town kkanso mu distulikiti y’e Nakaseke bavuddeyo ne beemulugunya ku mwala ogubafuukidde ekizibu mu kitundu kyabwe.

 

Bategeezezza nti abaana baabwe basusse okugufiiramu kyokka ng’abakulembeze mu kitundu beesuuliddeyo gwa nnagamba.

 

 Omwala guno guli mu wakati mu bantu era gwetoolooddwa amayumba wabula kati n’abatuuze abaagula okumpi n’omwala guno bejjusa lwaki baasengawo kuba buli kaseera we baagulirawo gwali tegunnaba kugejja nga bwe kiri kati.

 

Abatuuze nga bakulembeddwa Ruth Nakafeero bagambye nti omwala guno gugatta ebyalo bibiri okuli Lugguggu saako ne Healthy Centre  era nti abaana baabwe babiri be baakafiiramu, kwe kusalawo beekubire enduulu.

 

Jalia Kezimbira agambye nti buli enkuba bw’etonnya baba beeraliikirivu era nti bo baali bamanyi nti bagenda kugukola mu budde bwa kasana.

 

Henry Ssekatawa nga mutuuze asiimye Bukedde okujja mu kitundu kyabwe n’ategeeza nti balina essuubi nti eddoboozi lyabwe lijja kutuuka.

 

Akulira ebyokwerinda ku kyalo, David Kawooya agambye nti ekizibu kye balina kwe kubeera nga bangi ku batuuze balina obulumi kuba omwana guno baludde ebbanga ng’abatuuze bagwemulugunyaako.

 

Kyokka mu kwogerako ne Town clerk w’e Ssemuto, Richard Mukasa agambye nti tebannaba kufuna ssente zaakuzimba mwala guno nga nabo bali mu kuzirinda okuva mu Gavumenti.

Tags:
Ssemuto
Kugaziya
Kusattira
Kugaziwa