Amawulire

NAMWANDU wa Alex Mukulu yejjusizza oku noba n'aleka bba mu nju obw'omu

 NAMWANDU wa Alex Mukulu Juliet Nyonyintono yejjusizza lwaki yalekawo Mukulu mu nyumba obwomu, olumbe ne lumuluma nga talina amuweereza katunda.

Bamulekwa nga boogerako eri abakungubazi ku National Theater
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

 NAMWANDU wa Alex Mukulu Juliet Nyonyintono yejjusizza lwaki yalekawo Mukulu mu nnyumba obwomu, olumbe ne lumuluma nga talina amuweereza katunda.
Bino Nyonyintono abyogeredde ku National Theater mu Kampala eggulo mu kukungubagira omwoyo gw’omugenzi munnabitone  Alex  Mukulu.

Juliet Nyonyintono maama w'abaana ba Alex Mukulu

Juliet Nyonyintono maama w'abaana ba Alex Mukulu


Bw'atuuse okwogera, Nyonyintono agambye nti Alex yamuganza akyali muwala muto nnyo nga wa myaka 14 ate Mukulu nga wa 19 ne batandika okwagalana era tayinza kwerabira miggo Mukulu gye yamukubya olw’abazadde okumugwamu nti atandise eby’omukwano ku myaka emito.

Wabula Mukulu yali kyaliko akikakasa era yamulemerako okutuusa lwe yamufumbirwa ne bazaala abaana babiri. Abaana bano baabazaalira mu mukwano omuyitirivu kyokka wakati awo ne bafuna obutakkaanya ne baawukana ye n’agenda mu nsi z’ebweru n’amuleka wano.

Wabula bwe yategeera nti Mukulu olumbe lumubala embiriizi, yasalawo okukomawo amujjanjabe era bwe yamulaba n’asanyuka wadde yali agonze. Embeera eno yamukwasa ekisa, ne yejjusa lwaki yamulekawo ebbanga eryo lyonna lyamaze ng’ali yekka, ne kimuwaliriza okwenenyeza Katonda amusonyiwe.

Maama w'abaana Juliet Nyonyintono ne bamulekwa ba Alex Mukulu

Maama w'abaana Juliet Nyonyintono ne bamulekwa ba Alex Mukulu


Wabula ekimusanyusizza, kwekubanga Mukulu wafiiridde amubadde ku lusegere era yafiiridde mu ngalo ze, ate yafudde ayatudde obulokozi era yafiiridde mu ssanyu ate n’abaleka nga nabo basanyufu kubanga baamujjanjabyeko, ate n’afiira mu Katonda.


Wadde Mukulu yafudde, naye Namwandu yagambye nti agenda kusigala mulamu kubanga alesse omwana Edgar Mukulu, eyatwala ebitone bye byonna, n’asaba Bannakatemba okumukwatako asobole okutwala mu maaso omukululo gwa kitaawe.

Edgar Mukulu

Edgar Mukulu


Mukulu okuva lwe yayawukana ne mukyala we ono mu myaka gy’e 90, teyaddamu kuwasa era abadde muwuulu ng’ennyumba ye esangibwa e Mengo agibeeramu bwomu.

Ennyumba ya Alex Mukulu

Ennyumba ya Alex Mukulu


Bamulekwa Gwendolyn Mukulu ne Edgar Mukulu, aboogeddeko eri abakungubazi batenderezza omukwano kitaabwe gw'abadde abalaga, ssaako okubakuliza mu mpisa z’obuvunaanyizibwa ate ayagadde nnyo eggwanga lye era abakubirizza okulyagala mu buli kyebakola, abadde omuyiiya era akozesezza obulungi amagezi ge. 


Bano boogedde ku bulamu bwa Alex  Mukulu n’embeera ze nti bibadde bizibu ddala okutegeera era teri munnakatemba yenna yagambye nti abadde ye amutegeera.

Tags:
Juliet Nyonyintono
NAMWANDU
Edgar Mukulu
Gwendolyn Mukulu
Alex Mukulu

Emboozi Ezifanagana