Winnie Nakafeero amanyiddwa nga Winnie Wa Mummy by’asiba bikutuka. Nga yaakamala okwekola obusolosolo ku siteegi e Kololo n’omuyimbi King Saha kati agava mu nkambi ye si malungi.
Ababiri bano babadde balina enkolagana enkwafu etambuza ebintu wabula, Aidan okusuulawo ttawulo kyalese Winnie kw’ossa n’abawagizi be mu bbanga.
Kigambibwa nti Winnie ebiseera ebisinga abimala ne King Saha era kati gw’asinga n’okuwuliramu.
Takyagenda ku bivvulu Saha kw’atali era n’entalo za bakyala ba Saha ze yayingiramu ze zimu kuzatiisizza maneja ono n’asalawo yeetegule nga bukyali.
Okwawukana kwabwe, Maneja yakutadde ku mutimbagano wabula n’amwebaza emyaka gye babadde bonna kw’ossa n’okumwagaliza ebirungi mu maaso.