Omusajja avudde mu mbeera n'abaka ejjambiya n'atema mulamu we face n'omugongo n'atwaliramu n'omwana ow'omwaka ogumu n'amukutulako ekigere.
Bibadde Vide Kinoni B mu muluka gw'e Lubale mu Ggombolola y'e Kyera e Sembabule, Yoweri Muhwezi 30 gy'agambibwa okutema mukyala wa mutoowe Faith Kamusiime 20 n'amulumya wamu n'omwana we ow'omwaka ogumu.

Ekigere kya Bbebi ekitemeddwako
Olumaze okukola ekikolwa kino nti n'adduka kyokka poliisi n'abatuuze bamuyizze ne bamukwatira ku kyalo Rwemikoma mu disitulikiti y'e Kazo n'akomezebwawo e Sembabule ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, agamba nti entabwe evudde ku mukyala wa Muhwezi obutamukkiriza kufumba mu maka gye babazaala nti kyokka omukisa lubeerera ne baguwa Kamusiime ( mukyala wa mutoowe)