Amawulire

Munnamateeka Hassan Male Mabiriizi akkiriziddwa okweyimirirwa

MUNNAMATEEKA Hassan  Male  Mabiriizi akkiriziddwa  okweyimirirwa oluvanyuma lw'okumala ebbanga erisukka ennaku 60 mu kkomera.

Hassan Male Mabiriizi mu kkooti
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

MUNNAMATEEKA Hassan  Male  Mabiriizi akkiriziddwa  okweyimirirwa oluvanyuma lw'okumala ebbanga erisukka ennaku 60 mu kkomera.

Ono yasindikibwa mu nkomyo nga February 3,2026 kyokka tagenda kuyimbulwa kubanga kkooti emulagidde aweeyo paasipooti gy'agambye nti talina.

Kati Mabiirizi alina okusooka okuwandiikira ministule ekola ku bya pasipoti ekakase nti taweebwangako paasiport alyoke ayimbulwe.

Avunaanibwa kutyobola Ssabalamuzi Dr Flavian Zeija n'omulamuzi Musa Ssekaana.

Tags:
Male  Mabiriizi
Dr Flavian Zeija
Musa Ssekaana.

Emboozi Ezifanagana