Munnansi wa Congo agambibwa okuba ng'aludde ng'agula amasimu amabbe n'agatwala e Congo, poliisi y'e Nansana emukutte
Mu kulondoola essimu, yalaze nga baagitutte ku kizimbe kya Kalungi Plaza mu Kampala nti n'oluvannyuma ne bajongerayo e Beni mu Congo.
Omusajja ono, baamukutte yaakadda okuva e Beni ng'anoonye essimu endala 27 ze babadde bamaze okyusakyusa ebigikwatako.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyalondoola n'abalala era n'ayita abo be babbako amasimu okubatuukirira.