FFAMIRE ku kyalo KKB, okumpi ne Bwebajja Craft mu muluka gw’e Kitende, ggombolola y’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso esattira olw’omu ku batuuze okubbibwako bbebi emisana ttuku kati ennaku ssatu nga talabika.

Namutebi gwe babbyeko omwana
Okusinziira ku Namutebi omumpembe ono yawadde omwana Imran Katumba ow’emyaka 11 eyabadde azannya ne bbebi enkumi bbiri n’abatwala ku dduuka abagulire ‘Ice Cream’.

Bbebi eyabbiddwa bw'afaanana.
Bwe yamaze okubagulira ‘Ice Cream’ wa nnusu 1,000/= , olukumi olwasigaddewo yaluwadde eyamuleetedde omwana, n’amusiibula addeyo awaka kyokka bbebi n’amumulekera, n’okutuuka leero bbebi taddangamu kulabika.
Omwana Katumba bw ebaamubuuzizza eyatutte bbebi, n’abagamba nti omutuuze amanyiddwa ku kitundu nga William wabula ku ‘Tik Tok’ akozesa Kasozi Tonny mbu ye yamutumye bbebi era n’amumulekera.

William Agambibwa Okuwamba Bbebi bw'afaanana.
“William abadde atera okusaagasaaga na buli omu ku kitundu naye nga tetumanyi w’asula, ekirungi ne baamuliraanwa baamulabye ng’atwala bbebi, kyokka ennamba y’essimu ebadde emanyiddwa yagiggyeeko, nsaba buyambi, yenna amanyi amayitire ga bbebi wange annyambe,” Namutebi bwe yategeezezza.
Agamba nti alina omuwala ‘Mariam’ eyeeyita mmwannyina wa William, gwe baakubidde n’abagamba nti kituufu William y’alina omwana kyokka yagaanye okubalagira ekifo gye bali.
Ensonga ziri ku Poliisi y’e Bwebajja ku Ref. No; 29/18/08/2026 era okunoonyereza kugenda mu maaso.