Amawulire

Poliisi ekutte omuwala agambibwa okufumita munnne ebiso n'amuleka mu kazigo n'abulawo

Patricia Rose Turindwamukama, y'akwatiddwa okuva ewa mukwano gwe e Mbuya gy'abadde yeekukumye.

Poliisi ekutte omuwala agambibwa okufumita munnne ebiso n'amuleka mu kazigo n'abulawo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuwala agambibwa okufumita munne ebiso bwe babadde basula e Bukoto mu Kampala n'amutta, poliisi emukutte.

Jovia Eyattiddwa

Jovia Eyattiddwa

Patricia Rose Turindwamukama, y'akwatiddwa okuva ewa mukwano gwe e Mbuya gy'abadde yeekukumye.

Kino kiddiridde okuttibwa kwa Jovia Namuwulya 22 nga Aug 20 mu zzooni ya Mukalazi e Bukoto mu Kampala, omulambo ne baleka nga bagusibidde mu nnyumba.

Jovia abadde abeera ne Rose mu nnyumba era ng'oluvannyuma lw'ettemu, Rose yabuzeewo era nga babadde bamuyigga.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti ono abadde ategeka kugenda Iraq ng'amaze n'okusaba Visa. Tekinnategeerekeka kiki ekyavuddeko ettemu lino.

Tags:
Bukoto
Omuwala
Kazigo
Kufumita
Biso
Kukwata