Abamu ku basajja omusanvu abaakwatiddwa mu kutemula kaputeeni wa Sports Club Villa David Owori nga Aug 4, babagguddeko emisango emirala egy'obutemu n'okubbisa eryanyi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti abantu bano okuli, David Ahumuza , Martin Lubega , Francis Ssegawa , ne Elvis Munguki, kigambibwa nti be bamu ku baalumba doctor Omucongo ne bamutusaako obulabe ne bamubbako essimu.
Agambye nti Ahumuza David ne Arafaati Magumba , poliisi ekizudde nga July 31, balina omusango gwe bazza , era nga nabo, babanoonyerezaako