Oluguudo lwa Masaka Road e Nateete ku bitaala lufuuse lwa bulabe eri abalukozesa naddala mu biseera by'enkuba, olw'ebinnya ebinene ebyesima mu luguudo ne kkolaasi eyavaamu kati emyaka 4 bukyanga balaga kulukola.

Ekinnya ekiri wakati w'oluguudo lwa Nateete ku bitaala ne Busega
Abatuuze baagambye nti balaajanidde gavumenti emirundi mingi ebataaase oluguudo luno lukolebwe nga buteerere.

Mmotoka nga ziri mu luserengedde ku bitaala bya Nateete.
Bategeezezza nti kati nabo balinze gavumenti lw’eryekuba mu kifuba n’ebalowoozaako kuba ne ku bw’omusana enfuufu ebeera mpitirivu emirimu gyabwe ne gyonooneka.