MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi ayimbuddwa ku bukwakkulizo obumuleetedde okusigala mu kkomera okutuusa nga abutuukirizza.
Mu bukwakkulizo obulala obumuteereddwa kwe kuleeta ebiwandiiko ebimwogerako nga biraga gy’abeera wamu n’okusasula obukadde 2 nga za buliwo wamu n’obutabaako ky’ayogera ku musango obutataataaganya mu okunoonyereza kwa ludda luwabi.
Wabula bino byonna Mabiriizi abiwakanyizza n’ategeeza omulamuzi nti bwe yali asaba okuyimbulwa awatali bukwakkulizo yamutegeeza nga bw’atalina pasipooti era n’omuwabi wa gavumenti yakitegeera kino ne kimuggya mu mbeera ng’awakanya ensala ya kkooti ku kuyimbulwa kwe.
Kuno yagasseko ensonga yassente okubeera empitirivu ezimusariddwa wano weyategerezza omulamuzi nga bwatagenda kusobola kuzisasula kuba ekisooka abadde mu busibe era nga asobola kufuna mitwalo 50.
Era omulamuzi yamutegeeza nga bw’atalina kyakumukolera era waakutandiika okuwuliririza omusango guno mu bunnambiro n’agwongerayo okutuusa nga September 2 ,2026.
Mabiriizi yakwatibwa mu February w’omwaka guno n’aggulwako emisango 4 okuli egy’okusaasaanya obubaka abukyamu wamu n'okusiga obukyayi bwe yakozesa ebyuma bi kalimagezi ng’agamba nti ssaabalamuzi w'eggwanga Flavian Zeija n'omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana bali ba nguzi.