POLIISI nga yeeyambisa kkamera zaayo ez’oku luguudo erondodde akabinja k’abazigu abakozesa ebijambiba okubba abantu mu bitunduebyenjawulo n’ekwatako babiri n’ebaggalira.

Akatambi akaakwatibwa kkamera bwe baali ku bbooda nga babba.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti abazigu okuli Derrick Kakooza nga ye yali avuga pikipiki ne munne John Bosco mukalazi amanyiddwa nga Ali Junior balumba amaka e Ssekiwunga nga balina ebijambibwa ne banyaga ebintu ebyenjawulo nebabulawo.
Yagambye nti oluvannyuma lw’okufuna omusango ku poliisi e Kajjansi abaserikale nga baasitukiddemu ne batandika okukola okunoonyereza nga beeyambisa obukugu obw’enjawulo omuli n’okwekebejja ebifaananyi ebyakwatiddwa kkamera z’oku luguudo ne basobola okulaba abazigu we baabadde.
Owoyesigyire yagambye nti Kakooza ye yali avuga pikipiki, ers mu kukwata abaserikale ayazizza gy’asula ne basangayo ebimu ku bintu bye babba ng’ono era yasobodde okwogera ne munne Mukalazi gye yeekukumye nga yakwatiddwa nga August 25, 2026.
Yategeezezza nti okunoonyereza okwakoleddwa abaserikale baakizudde nti Mukalazi muzzi wa misango wa lulango nga yakwatibwako ku misango gy’okubbisa eryanyi mu 2023 ng’abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera e Kigo gy’abadde yasindikibwa.
Abaakwatiddwa bavunaanibwa omusango gw’okubbisa eryanyi oguli ku ffayiro nnamba CRB 650/ 2026 ku poliisi e Kajjansi