Amawulire

Poliisi ekutte abasajja 13 n'abakazi 8 mu kikwekweto ky'obumenyi bw'amateeka e Namayingo

ABANTU 21 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka, bakwatiddwa poliisi mu kikwekweto ky'ekoze  e Namayingo.

Poliisi ekutte abasajja 13 n'abakazi 8 mu kikwekweto ky'obumenyi bw'amateeka e Namayingo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU 21 abagambibwa okubeera abamenyi b'amateeka, bakwatiddwa poliisi mu kikwekweto ky'ekoze  e Namayingo.

13 ku bano basajja ate 8 bakazi era nga baggyiddwa mu bbaala mu ssaawa ezitakkirizibwa, n'ebifo mwe bazannyira zzaala, abo abawogganya ebidongo n'abo abagambibwa okwekweka mu bifo ebikyamu.

Bonna abakwatiddwa, bakuumirwa ku poliisi e Namayingo ng'okubasunsulamu, bwe kugenda mu maaso.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kasadha, asabye abaddukanya bbaala n'ebifo omuzannyirwa zzaala, okugoberera ebiragiro n'essaawa ze balina okukomako okukola.

Tags:
Namayingo
Kukwatibwa
Bantu
Basajja