Amawulire

Omuvubuka eyatuze muganzi we olw'okuzina akadodi nga tamukkirizza poliisi emuyigga!

Wilson Wafula 24, omutuuze w'e Bukinalwa mu ggombolola y'e Buwooya e Buvuma, y'anoonyezebwa poliisi , ku bigambibwa nti yasse mukazi we Doreen Namunana 21 bwe baafunye obutakkaanya. 

Omuvubuka eyatuze muganzi we olw'okuzina akadodi nga tamukkirizza poliisi emuyigga!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Buvuma ekyagenda mu maaso n'okuyigga omuvubuka agambibwa okutuga mukazi we n'amutta, ng'amulanga okugenda okuzina akadodi nga tamuwadde lukusa.

Wilson Wafula 24, omutuuze w'e Bukinalwa mu ggombolola y'e Buwooya e Buvuma, y'anoonyezebwa poliisi , ku bigambibwa nti yasse mukazi we Doreen Namunana 21 bwe baafunye obutakkaanya.

Kigambibwa nti omugenzi, yagenze okuzina akadodi ku kyalo ekiriraanyeewo nga kino kyanyiizizza omusajja , nti era bwe yakomyewo, kwe kumukakkanako n'amutuga omulambo n'agulekawo n'abulawo.

Ensonda mu Poliisi zigambye nti  omuyiggo gw'omuvubuka ono gugenda mu maaso era ne basaba ababeera bamulabyeko, okutemya ku poliisi.

Tags:
Buvuma
Poliisi
Kadodo
Kadodi