BA OFIISA ba poliisi basindikiddwa mu kkomera lwa kwenyigira mu bufere bwa zzaabu.
Abaserikale bano bonna bali ku ddaala erya Police Constable baasimbiddwa eggulo mu kkooti ya City Hall maaso g’omulamuzi Nicholas Aisu n’abasomera omusango gw’okwekobaana okuzza omusango.
Bonna baagwegaaanyi kyokka babadde baagala okusaba okweyimrirrwa n’abasinidka mu kkomera okutuusa nga September 7, 2026 lwe banaasaba.