Omu ku bagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente e Bugweri akwatiddwa poliisi e Iganga.

Emu ku nte egambibwa okuba enzibe
Fahad Magumba Balaza 25, omutuuze w'e Nabitovu mu muluka gw'e Mwira mu ggombolola y'e Nambale e Iganga, y'akwatiddwa n'ente bbiri ezigambibwa nti yazibbye okuva eri abooluganda lwe e Bukokola Bubenge B.

Ente eyookubiri egambibwa okuba enzibe
Kigambibwa yazibbye ku Tebenenia Namuyindi ne Kigali Banuli nga ba kukyalo kimu era bombi abalinako oluganda.
Omwogezi wa poliisi e Busiga East, Micheal Kasadha, agambye nti omusibe n'ente, bikuumibwa ku poliisi e Iganga ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.