OMU ku babbi abeebijambiya abagambibwa okutambulira ku bodaboda, akwatiddwa poliisi oluvannyuma lw'okugezaako okusikambula essimu okuva ku bannansi ba South Sudan.
Kigambibwa nti mu kanyoolagano, omu ku babbi Ojambo, yakwatiddwa abatuuze era ng'ejjambiya n'essimu eyabadde ebbiddwa, baagizudde.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti Ojambo, akkirizza eky'okubba era nga bayigga munne.
Ate e Katooke , poliisi ekutte omuwala ow'emyaka 17 agambibwa okuzaala omwana n'amusuula mu kaabuyonjo so nga n'e Kabalagala omukazi ow'eggwanga lya Ethiopia Sorina afudde, oluvannyuma lw'okuva ku kizimbe kya Joina e Kabalagala, n'agwa wansi.