ABASERIKALE ba poliisi 4, abagambibwa okwetuma emirimu gy'okukuuma ekibanda kya zzaabu , abakiddukanya mwe baaferera Musingansimbi obuwumbi, babagobye mu poliisi era nga baakuvunaanibwa mu mbuga z'amateeka ku misango egy'enjawulo.
Abaserikale abaagobeddwa mu poliisi ku Lwomukaaga, kuliko PC Ayu Akurutu, PC Razaka Emerutu, PC Ben Waiswa ne PC Sirije Waiswa nga bano, baabalumiriza okwewaggula ne beewa omulimu gw'okukuuma ekibanda kya zzaabu ekya Real Sunex Ltd, abakiddukanya mwe bagambibwa okunyaga obukadde bwa ddoola.
Abalala 12 abaakwatiddwa mu bunyazi buno, kuliko Moses Asiimwe, Rogers Mibengo munnansi wa Congo,Edward Kiwanuka, Geoffrey Kajubi, Bright Ojambo, Solen Nakahose, William Masaaba , Joseph Walusimbi n'abalala.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti okubaaza, baabasanze ne zzaabu ow'ekikwangala wamu n'emmotoka 8 ezigambibwa okuba nti baazigula mu ddoola ze baanyaga era nga babadde bakyabanja obukadde bwa ddoola obulala 4.