Abasajja basatu abagambibwa okweyita abaserikale ba poliisi ne bagezaako okubba abagwira, bakwatiddwa poliisi.
Abakwatiddwa, kuliko John Pius Osire , Pius Girengero ne John Emogu era nga mu kubaaza, kigambibwa nti baabasanze ne warrant kaada ezisuubirwa okuba enjingirire era okubuuliriza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti abakwate era kigambibwa nti baalumba bamusingansimbi mu Kitooro n'e Manyago ne bababbako ssente.
Ate era e Nabbingo poliisi eyigga abasajja babiri abagambibwa okuba nti babasanze baliko pikipiki ssatu ezigambibwa okuba enzibe nga baazipangulula ng'omwogezi wa poliisi Kituuma Rusoke bw'annyonnyola.
Agasseeko nti kuliko nnamba UMA 256JE, UMA 885LV ne UEZ 586D era ng'okubayigga n'okunoonya bannyini zo, kugenda mu maaso.