Amawulire

Poliisi ekyakunya omuserikale waayo agambibwa okukuba owabbooda amasasi agaamutiddewo mu bulungibwansi

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga, omuserikale wa poliisi PC Allan Ogwal gy'agambibwa okukuba Ronald Jjuuko Kizito essasi eryamusse e Kanaaba mu Makindye Ssaabagabo munisipaali.

Poliisi ekyakunya omuserikale waayo agambibwa okukuba owabbooda amasasi agaamutiddewo mu bulungibwansi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okukunya omuserikale waayo agambibwa okukuba owa bodaboda amasasi agaamuttidde e Kanaaba Ndejja olw'obutayonja.

 

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga, omuserikale wa poliisi PC Allan Ogwal gy'agambibwa okukuba Ronald Jjuuko Kizito essasi eryamusse e Kanaaba mu Makindye Ssaabagabo munisipaali.

(Vidiyo eyalaze ekiriwo)

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, avumiridde ekikolwa kino era n'agamba nti bagenda mu maaso n'okubuuliriza era ng'ono waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

 

Yeeyamye ebikolwa nga bino, obutaddamu era n'asaba abantu okubeera abakkakkamu ng'okunoonyereza kukolebwa

Tags:
Amawulire
Poliisi
Bulungibwansi