Amawulire

Poliisi yaakaggya sitaatimenti ku bantu 650 abalumiriza Don Chris okubafera

Kigambibwa nti bano baasasulanga ssente eziri eyo mu bukadde 10 n'okugenda waggulu era nga kigambibwa nti ssente ezisoba mu buwumbi 2 , ze zabbibwa omukulu ono ng'ayita mu kkampuni ya Sky pins mwe yali akola nga CEO.

Poliisi yaakaggya sitaatimenti ku bantu 650 abalumiriza Don Chris okubafera
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abawera 650 be baakaggyibwako sitatimenti nga balumiriza Christine Asiimwe, Don Chris okubaggyako ssente ng'abasuubiza okubafunira emirimu ebweru.

Kigambibwa nti bano baasasulanga ssente eziri eyo mu bukadde 10 n'okugenda waggulu era nga kigambibwa nti ssente ezisoba mu buwumbi 2 , ze zabbibwa omukulu ono ng'ayita mu kkampuni ya Sky pins mwe yali akola nga CEO.

Don Chris yakwatiddwa wiiki ewedde okuva mu bbaala emu ewa Zzana e Ntebe Rd era ne bamuggalira.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti abalala era bakyabaggyako sitaatimenti era nga ffayiro egenda kuweerezebwa ew’omuwaabi wa gavumenti okubawabula.

Tags:
Don Chris
Poliisi
Sitaatimenti
Kufera
Bantu
Kuggya