Amawulire

Emmeeri ya MV NODL esaabaza abantu okuva e Bukasa okudda e Nakiwogo eyimirizza emirimu gyayo

Emmeeri ya MV NODL esaabaza abantu okuva e Bukasa okudda e Nakiwogo eyimirizza emirimu gyayo omumala wiiki nnya

Emmeeri ya MV NODL esaabaza abantu okuva e Bukasa okudda e Nakiwogo eyimirizza emirimu gyayo
By: Samuel Nkuba, Journalist @New Vision

Ku Lwokuna lwa ssabiiti ewedde emmeeri eya MV NODL yalemererwa okutuuka e Nakiwogo bwe yakubwa omuyaga ogw’amanyi okukkakkana nga yingini zaayo zifunye obuzibu bwe yali eva e Bukasa ng’edda e Nakiwogo.

 

Kuno kwaliko abasaabaze abasukka mu 100 era yamala essaawa nnamba nga omuyaga kujiseeyeyeesa ku nnyanja okutuuka MV Kalangala lwe yagenda n’ebayamba.

 

Kati okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa aba Nation Oil Distributor Limited (NODL) emmeeri eno eyimirizza emirimu gyayo ng’egenda kuddaabirizibwa okumala ssabiiti nnya namba.

 

“Yingini zaffe zakwata obutimba ssaako ebicupa ebiseeyeeyeza ku nnyanja nga bino bye byavaako obuzibu bwonna era wano tusaba mu kiseera kino abasaabaze abava e Bukasa bagire nga bakozesa entambula eziriwo,” Ekiwandiiko bwekigamba.

 

Emmeeri eno yasibwaawo Gavumenti mu mwezi gwa November omwaka oguwedde ng’omu ku kaweefube w’okukendeeza obubenje obwali buva ku maato agatikka obubindo.

 

Hajji Sadala Musoke akulira NODL ateegezezza nti bamaze okutumya ebyuma byonna ebyetaagisa era eno egenda kukolebwaako wano oluvannyuma yeekenenyezebwe aba minisitule y’ebyentambula nga tennaddamu kusaabalira ku nnyanja Nalubaale.

 

“Bwe tunaamaliriza byonna ebyetaagisa tugenda kuddamu okusaabaza abantu baffe era tukole ne boat cruise nga bwe zibaddenga mu kitundu ky’e Lutoboka,” Sadala bwe yagambye.

 

Bo bana Bukasa basabye emirimu gyanguyirizibweko kubanga mu kiseera kino omuyaga munji nga batya okulinnya ebinaala olw’ebyo ebizze nga bigwamu nga ne gye buvuddeko eryato eryabadde litisse ebintu ku mwalo ogw’e Kasenyi nga lidda Nkese mu bizinga by’e Ssese lyayabise kyokka tewali muntu yafiiriddemu.

Tags:
Amawulire
Mmeeri
Bukasa
Nakiwogo
Bantu
NODL
MV NODL