Abantu 3 be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa mu Kisenyi mu Kampala.

Canter eyakoze akabenje
Abavuzi ba boda boda babiri bafudde n'oweebigere abadde afunye ebisago eby’amaanyi naye oluvannyuma n'afa olwo bafudde ne bawera basatu.
(Vidiyo eyabadde eraga ekibaddewo)
Ddereeva w'emmotoka asoose okudduka nti kyokka oluvannyuma abaserikale ne bamukwata era akuumirwa ku poliisi ya Old Kampala ng'okunoonyereza ku kivuddeko akabenje, kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, asabye abavuzi b'ebidduka okusooka okubyekenneenya n'okwewala okuvugisa ekimama.