Amawulire

Poliisi e Iganga ekutte 30 ku by'okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka

Ku bano abayooleddwa kuliko omuwala omu ate ng'abasajja bali 30 era ng'okubasunsulamu kugenda mu maaso.

Poliisi e Iganga ekutte 30 ku by'okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abasoba mu 30 be bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa e Iganga.

 

Ku bano kuliko omuwala omu ate ng'abasajja bali 30 era ng'okubasunsulamu kugenda mu maaso.

 

19 bakwatiddwa kuva ku Ssaza Rd ne Kaliro, e Bulingo bafunyeeyo 3 abeebijambiya, e Nakalama bakutte 5, ate 4 baggyiddwa Bunyiro.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti babakutte n'enjaga, ebyuma ebimenya, amajambiya n'ebirowoozebwa okuba ebibbe, ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kukwata
Iganga