Amawulire

3 bakwatiddwa ku by'okusangibwa ne ppiki enzibe e Nsangi

Abantu 3 bakwatiddwa ne pikipiki eziwerako ne bazizuula nga mulimu n'eyabbibwa mu 2022 okuva e Buwaali Nsangi.

3 bakwatiddwa ku by'okusangibwa ne ppiki enzibe e Nsangi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 3 bakwatiddwa ne pikipiki eziwerako ne bazizuula nga mulimu n'eyabbibwa mu 2022 okuva e Buwaali Nsangi.

 

Bajaji boxer nnamba UDF 719Q kigambibwa nti yabbibwa okuva mu Buwaali Cell e Kyengera Town Council era ng'eno ekwasizza Ronald Ssemanda 45 nga naye mutuuze e Buwaali.

Emu ku ppiki eyabbiddwa

Emu ku ppiki eyabbiddwa

Ono mu kumukunya, kigambibwa alonkomye banne abalala babiri okuli Gitta Byekwanso 48 ow'e Kyambazi e Wakiso ne Juma Yiga 25 ow'e Kitemu  cell nabo ne bakwatibwa.

 

Mu kikwekweto kino, poliisi ezuuliddemu pikipiki endala okuli UED 757A, Yamaha Mate, UDA 599x Jaggwa, UDA 841L mate, UDB 031Y , UEE 408V, UDD 224V.

 

Endala UDB 475N, UEC 006Z, UDX 927N, UDC 132U , UG 0701E, ne fFuleemu za pikipiki endala ssatu.

Ppiki endala eyakoleddwa.

Ppiki endala eyakoleddwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti balina ne sipeeya wamu n'ebyuma bya pikipiki ebirala ebizuuliddwa era ng'okubuuliriza, kugenda mu maaso.

Tags:
Bantu
Pikipiki