Amawulire

Akakiiko k'ebyokwerinda kalambudde amakolero n'amatendekero g'ekkomera ly'e Luzira

AKAKIIKO ka palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda n'ensonga ez’omunda mu ggwanga , nga kakulemberwa omubaka Robinah Rwakoojo, baalambudde Luzira Prison Industries ne Luzira Prison Academy.

Akakiiko k'ebyokwerinda kalambudde amakolero n'amatendekero g'ekkomera ly'e Luzira
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

AKAKIIKO ka palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda n'ensonga ez’omunda mu ggwanga , nga kakulemberwa omubaka Robinah Rwakoojo, baalambudde Luzira Prison Industries ne Luzira Prison Academy.

Ab'akakiiko kano nga balambuzibwa.

Ab'akakiiko kano nga balambuzibwa.

Nga bali n'amyuka akulira ekitongole ky'amakomera, Samuel Akena n'abakulembeze abalala, balambudde ebifo eby'enjawulo e Luzira ne babaako bingi bye bannyonnyodde.

Obumu ku buzibu ekitongole bwe kirina, mwe muli obw'abasErikale, nga mu kiseera kino, balina abasibe 83,628 ku baserikale 39,462 by'ebitundu 37.4 ku 100 nga kino kitegeeza nti omuserikale omu , akuuma abasibe 7 so nga kyandibadde nti omuserikale omu akuume abasibe 3.

Ekitongole era kiri mu ntegeka okussaawo ettendekero ly'okutendeka abaserikale ku kkomera e Kitalya n'okwongera okuddaabiriza Luzira Training School.

Abamu ku basibe mu bbajiro nga bakola

Abamu ku basibe mu bbajiro nga bakola

Mu ngeri y'emu era bategeka okussaawo ekkolero ly'engatto z'amaliba, ery’engoye n'ebibajje e Kitalya okwongera okuyamba ku basibe nga babasomesa obukodyo mu mirimu n'okubaddaabulula.

Ekitongole kirina ennimiro 68 omuli ebirime, ebisolo n'okumezesa ensigo wamu n'amakolero 11 okuli ag’ebibajje, agakola yunifoomu n'okuzitunga , ag'ebyemikono n'agakola ssabbuuni.

Abakungu oluvannyuma lw'okulambula mu kifaananyi eky'awamu.

Abakungu oluvannyuma lw'okulambula mu kifaananyi eky'awamu.

Akena yannyonnyodde nti amakolera gavaamu ebintu ebiweza obuwumbi 4 n'omusobyo buli mwaka. Baagambye nti okusoomoozebwa okulala , gwe mujjuzo mu makomera okweyongera

Tags:
Amawulire
Kakiiko
Luzira
Kulambula
Makolero