ABABBI balumbye amaka g'omutuuze omu e Kikandwa, ne bamubba oluvannyuma ne bawamba muzzukulu we ow'emyaka 5 ne basaba obukadde 4 okumubaddiza.

Lameck Kigozi ng'annyonnyola
Kigambibwa nti oluvannyuma ababbi beeyambisizza essimu ebadde ebbiddwa, ne bakanda jjajja n'abaffamire obukadde 4 okubaddiza omuzzukulu nga mulamu. Abaffamire basobodde okusindika akakadde kamu .
Ensonga zitegeezeddwa poliisi era nga bakulembeddwa DPC w'e Mityana Tyson Rutambika awamu ne flying Squad mu kitundu kya Wamala, bagezezzaako okubalondoola nti kyokka abazigu omwana ne bamuwa owa bodaboda amututte n'amussa ewa Mikka mu Wakiso.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti Nabakooza abasawo bamwekebezze ng'ali mu mbeera nnungi , era ne bamuddiza abazadde nga bwe bayigga ababadde bamuwambye.

Nassanga yawambiddwa naye, poliisi emunoonya.
Mu ngeri y'emu era, poliisi mu Kikajjo e Namasuba, eyigga abantu ababadde batambulira mu mmotoka ya Subaru egambibwa okutwala omwana omuwala ow'emyaka 17 Remimah Nassanga okuva mu Kibira Cell A e Masajja ku luguudo lw'e Busabala ne babulawo naye ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde. Abadde muyizi mu S4.