KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asabye abantu b'Obukama bwa Tooro okusigala nga bakkakkamu mu kiseera kino nga bakungubagira Omukama Oyo Nyimba Rukidi IV eyavudde mu bulamu okutuusa ekiseera webanayanjulirwa Omukama Omukama anadda mu bigere bye.
Obubaka buno abutisse Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akulembeddemu abakungu okuva mu Bwakabaka bwa Buganda okugenda mu maka g'Omukama Oyo agasangibwa e Buziga- Makindye mu Kampala olw’eggulo lwa leero okuwandiika mu kitabo ky'abakungubazi n'okutuusa okusasira mu butongole eri abantu b'Obukama bwe Tooro olw'okufiirwa kuno.

Katikkiro ng'awandiika Mu Kitabo Kyabakungubazi mu maka ga Oyo e Buziga
“Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayagala abantu ba Tooro babeere bumu era abakakkamu mu kiseera kino ekizibu ennyo.
Obulungi bwa Tooro bwe busaana okusukkuluma ku bigendererwa by’omuntu obuntu oba ekibinja ekimu,” Mayiga bwatuusizza obubaka Kabaka bwamutumye okubulira abantu b’e Tooro.

Omuhikirwa Rwomire Akiiki nga ayaniriza Ktikkiro Charles Mayiga
Baminisita Noah Kiyimba owa Kabineeti, Olukiiko n’Abagenyi, David Mpanga ow’ebizimbe n’ettaka, Robert Sserwanga ow’abavubuka, emizannyo n’ebitone. Abalangira baakulembeddwamu Omulangira David Namugala ate Abambejja baakulembeddwamu Nnaalinya Victoria Nkinzi.
Omuhikirwa, Rwomiire asinzidde wano n'alangirira nga Palamenti bwegenda okukungubagira Omukama Oyo olunaku lw'enkya “Ssebo Katikkiro (Mayiga) leero lwe lusembye okubeera n’okuwandiika mu kitabo ky’abakungubazi wano (e Buziga).

Omuhikirwa Rwomire Akiiki
Kati enkya tugenda ku Palamenti okussa ekitiibwa mu Omukama Oyo ate ku lwokutaano lwetugenda okwaniriza omubiri gwe ku kisaawe e Ntebe. Bweguva wano gwolekera mu Lubiri e Karuziika e Fortportal,” Omuhikirwa Rwomire bwayogedde.
Abantu bangi Leero abatuuse e Buziga okunakuwalira awamu n'abantu b'e Tooro okubadde Meeya wa Kampala central Salim Uhuru, Omumyuka Owookubiri owa Katuukiro w'e Busoga Osman Noor Ahmed n'abalala bangi.