Ab’ekitongole kya mazzi ekya National Water and Sewerage Corperation baggumiza abantu abali mu bitundu bya Kampala n'emiriraano nga bwebagenda okumalawo ebbula lya mazzi mu bitundu byaabwe, bongedde okuzimba ttanka za mazzi okubagabirira.

Nga balambula awazimbibwa ttanka z'amazzi
Bino byayogeddwa akulira ekitongole kya National Water Eng.Silver Mugisha bwabade akulembedemu abakungu okuva mu kitongole ekyo okulambula Ttanka za mazzi ezizimbibwa mu bitundu bye Kabulengwa,Kanyanya,Kungu ne Butuukirwa okulaba engeri omulimu gwokuzimba ttanka zino wegutuuse.

Yinginiya nga nnyonnyola omulimu w'egutuuse
Eng.Mugisha yagambye nti abantu ababeera mu bitundu ebiriranye Kampala balina ekizibu kye bbula lya mazzi naye kati beewadeeyo okulaba nga bamalawo ekizibu kino era bazimbye ttanka za mazzi e Kabulengwa,Kanyanya,Mutungo ne Kungu nga bwebazirambudde baasanze omulimu gutambula bulungi nga gukolebwa kampuni ya Sogea Satom nga baagala mu mwezi gwa July,2027 n’omulimu guno guwedde.