Omulamuzi Paul Gadenya Wolimbwa owa kkooti Enkulu mu Kampala bw’abadde akkirizza Brian Kirumira amanyiddwa nga Brian White okweyimrirwa amulagidde asasule obukadde 10 mu buliwo aziteeke ku akawunti y’essiga eddamuzi.

Bryan white lwe yaleetebwa mu kkooti gye buvudeeko.
Amulagidde okuleeta ebbaluwa ya LC gy’abeera ngeetereddwako omukono gwa ssentebe okukakasa obutuuze bwe, n’obukakafu obulaga nti abeera mu kitundu ekyo.
Omulamuzi amulagidde abuulire kkooti gy’agenda okubeera mu kifo ekyenkalakkalira n’akulira okunoonyereza ku CID atuukeyo akakase bw’aba tannayimbula kyokka ekifo ekyo tekirina kubeera mu maka agaddizibwamu emisango.
Ono era bamulagidde obutadda mu maka ago agasangibwa mu Badongo zzooni ku Salama Road ate yonna gy’agenda okubeera alina okubuulira kkooti ng’ebula ennaku musanvu asenguke.
Kkooti era eragidde nga tannayimbulwa aweeyo paasipooti ye n’ebiwandiiko byonna by’akozesa okufuluma eggwanga abiteeke mu kkooti era takkirizibwa kufuluma ggwanga nga tafunye lukusa lwa kkooti.
Era alabuddwa ye nga omuntu oba abantu be ng’ayita ku mutimbagano oba emikutu gyonna obutagezaako kwogera na baffamire y’omugenzi oba okuwuliziganya n’abajulizi bonna abasuubirwa okwegisigamwako oludda oluwaabi oba abantu b’abo b’avunaanibwa nabo.
Bamulabudde obutagezaako kutaataaganya kunoonyereza era yeeyanjule ku kkooti y’eddaala erisooka e Makindye okutuusa lw’alisindikibwa mu kkooti enkulu olwo yeeyanjule ew’omuwandiisi wa kkooti enkulu era bw’ayimbulwa waddembe okufuna badokita b’ayagala bamujjanjabe n’abamakomera bamuwe ebiwandiiko bye kw’abadde ajjanjabirwa.
Bw’amenya akamu ku bukwakkulizo obwo kkooti ejja kuyisa ekiwandiiko addemu akwatibwe.