Amawulire

Abantu 8 bebafiira mu mazzi buli lunaku lwa butamanya kuwuga

Poliisi y’oku mazzi wamu n’ekitongole kya Swim Safe Uganda batongozza kaweefube w’okukendeeza omuwendo gwa bantu 3,000 ababbira mu nnyanja buli mwaka musomo ogubadde mu Kamwokya ng'otendekebwamu bannamawulire, abakugu balaze nti buli lunaku abantu munaana (8) bafa obutamanya kuwuga, obutakozesa life jackets, n’ okulinnya amaato amafu.

Poliisi y’oku mazzi mu musomo
By: Joanita Nangonzi and Racheal Nankya, Journalists @New Vision

Poliisi y’oku mazzi wamu n’ekitongole kya Swim Safe Uganda batongoze kaweefube w’okukendeeza omuwendo gwa bantu 3,000 ababbira mu nnyanja buli mwaka musomo ogubadde mu Kamwokya ng'otendekebwamu bannamawulire, abakugu balaze nti buli lunaku abantu munaana (8) bafa obutamanya kuwuga, obutakozesa life jackets, n’ okulinnya amaato amafu.


Moses Kalanzi okuva mu Swim Safe asabye Gavumenti n’ekitongole kya UNBS okussaawo omutindo omutuufu ku life jackets ezitundibwa, ssaako okukola ezituukana n'obuzito bwa buli muntu. Bakkiriziganyizza nti kaweefube gwe batandise ogwa "Ntaasa 3000" waakuyamba okusomesa abantu engeri y'okwerwanako nga bagenze ku mazzi.

 

SSP Bashir Siriba okuva mu Poliisi y'oku mazzi ategeezezza nti poliisi esobola okutuuka ku muntu agudde mu mazzi mu dakiika 20. Wabula, kino kisoboka ku abo bokka ababa baambadde life jacket entuufu oba abamanyi okuwuga okusobola okusigala ng'omutwe guri kungulu okutuusa obuyambi lwebutuuka.

 


Dr Cliff Asha Alinga okuva mu National Resuscitation Council ategeezezza nti eby'obulamu biba mu matigga mangu nnyo amazzi bwe gayingira mu mawuggwe.

 Ono asabye abantu okwetaba mu kutendekebwa ku ngeri y'okussa mu mazzi n'okuwa obuyambi obusooka (first aid) okutaasa obulamu bw'abo ababa bagudde mu akabenje.

Tags:
Swim Safe
Gavumenti
life jackets
Dr Cliff Asha Alinga

Emboozi Ezifanagana