Amawulire

Abakulembeze b'e Kampala batongozza okukola oluguudo lwa Kinawattaka

ABAKULEMBEZE b'e Kampala batongozza okukola oluguudo lwa Kinawattaka olubadde luludde nga lutawaanya abalukozesa olw’embeera embi mwerubadde.Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda n’asaba abatuuze abalulinaanye okulonkoma abo bonna abanenyigira mu kubulankanya ebikozesebwa.

Loodi meeya Ronald Balimwezo (ku kkono) nga addiriddwa minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda n'akulira KCCA Sharifah Buzeki n'abalala mu kutongoza okukola oluguudo lwa Kinawattaka
By: Huzaima Kaweesa and Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

ABAKULEMBEZE b'e Kampala batongozza okukola oluguudo lwa Kinawattaka olubadde luludde nga lutawaanya abalukozesa olw’embeera embi mwerubadde.Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda n’asaba abatuuze abalulinaanye okulonkoma abo bonna abanenyigira mu kubulankanya ebikozesebwa.

Okutongoza oluguudo luno kwetabiddwako abakulembeze ba Kampala ab’enjawulo okubadde Minisita wa Kampala Hajat Minsa Kabanda, Loodi meeya Eng. Ronald Balimwezo n’akulira KCCA Hajat Sharifah Buzeki.

Balimwezo ategezezza nga oluguudo luno bweruli olukulu ennyo kubanga luyitako nnyo emmotoka ez’ebyamaguzi kyokka n’ategeeza nga bwebatagenda kuttira muntu yenna ku liiso analuzannyirako nga luwedde ku nkomerero y’omwaka guno.

Akulira KCCA Hajat Sharifah Buzeki asabye abantu okukozesa obulungi oluguudo luno bwerunaaba luwedde kubanga sente ezirugendako ziba zaabwe eziva mu kuwa omusolo.
Ategezezza nga bwebagenda okulukola nga lwa mulembe okwewala amataba agabadde gatawanya abantu mu kitundu kino.

Tags:
Kinawattaka
Okutongoza oluguudo
Hajat Sharifah
KCCA

Emboozi Ezifanagana