OKULONDA kw’abakyala okw’eggwanga kukomekkerezza ku kasozi Kyambogo abakyala abalondeddwa okukulembera bannaabwe ne basuubiza okubasakira mu Gavumenti nabo okweggya mu bwavu.
Abakazi nga bafuuwa Vuvuzela
Abakyala 146 okuva mu Disitulikiti zonna ezikola Uganda baakwetabyemu nga kwakulembeddwa akulira eby’okulonda mu Kampala Benjamin Ewaru eyakuliddemu n’okulangirira.
Ebifo bina (4) bye byesimbiddwako nga Ku kya Ssentebe, Mukyala wa Ssaabawandisi wa NRM Richard Twodong, Ann Lumumba Ruyondo eyakwatidde NRM bbendera ye yawangudde.
Abamu ku bakazi abesimbyewo
Ono yabadde avuganyizibwa Joy Ruth Acheng ku bwa nnamunigina kyokka olwatuuse we balondera n’ayitira ku mmeeza y’akulira okulonda n’amutegeeza nga bw’akivuddemu oluvannyuma n’alangirira mu lwantu nti akikoze ku lw’abakyala b’eggwanga n’ekibiina kye ekya NRM era yasuubizza okukolera awamu n’omuwanguzi okukulaakulanya bakyala banne.
Ruyondo agenda kumyukibwa Agness kirabo Nantongo, Hope Natukunda ku ky'ebyensimbi ne Shakirah Among Mwenyi ow'amawulire.
Abaddeko ye Hajati Faridah Kibowa eyameggeddwa mu kamyufu ka NRM ku bululu 25 ku 109.
Ruyondo eyalondeddwa yeebazizza bakyala banne abaamutaddemu obwesigwa n’abasuubiza okubasikira okuva mu Gavumenti okwekulaakulanya.
Abakyala nga beeyozayoza
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda, Julius Mucunguzi yategeezezza nti kuno kwe kulonda kw’eggwanga okusembyeyo ne yeebaza abakazi okukuuma empisa okuva gye baatandikira okuva ku byalo n’agamba nti babadde kyakulabirako kirungi.
Yasabye bannayuganda bonna abaalondeddwa mu bifo eby’enjawulo okukolera abaabalonze sso ssi kutuula mu offfiisi zaabwe ku latta.