Amawulire

Ab’eggaali y’omukka bazzeemu okumenya abeesenza okumpi n’ekkubo lyayo

AB'EKITONGOLE ky’eggaali y’omukka, bazzeemu okumenya abeesenza okumpi n’ekkubo lyayo. Bamenye obuyumba obuli mu mmita 10 okuva ku luguudo lw’eggaali, mu kaweefube w’okutereeza entambula yaayo.

Omusajja gwe baamenyedde ebibye ku katale k’abalimu e Kireka ng’akaaba
By: Tonny Kayemba and Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

AB'EKITONGOLE ky’eggaali y’omukka, bazzeemu okumenya abeesenza okumpi n’ekkubo lyayo. Bamenye obuyumba obuli mu mmita 10 okuva ku luguudo lw’eggaali, mu kaweefube w’okutereeza entambula yaayo.

 

Baatandikidde Banda okudda e Kireka okutuuka eggaali w’eyimirira mu Kireku. Bwe baatuuse ku katale k’abalimi aka Kireka Farmer’s Market, abamu baabadde baamenya dda, oluvannyuma lwa Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja okubakyalira ku Lwomukaaga n’alagira abali ku ttaka ly’oluguudo lw’eggaali y’omukka baveewo nga be kikwatako tebannabamenya.

 

Ssentebe waabwe, Robert Magumba yabalaalise ku Mmande okumenya emidaala egiri mu

kkubo abamu ne bakikola, era abaabadde beesisiggirizza be baamenyedde emidaala ne balaajana.

Abamu Ku Be Baamenyedde Obuyumba Nga Basobeddwa

Abamu Ku Be Baamenyedde Obuyumba Nga Basobeddwa

Embeera y’emu ye yabadde ku basuubuzi abakolera emabega wa Lufula bwe baabamenye ebyabwe. Baagenze mu katundu akamanyiddwa nga Gabiro Cell ne bamenya obuyumba bwonna ne balagira abaabussaawo obutabuzzaawo.

 

Obuyumba buno businga kukozesebwa bakolokota ebigere n’emitwe gy’ente n’ababadde bafumba. Wabula okumenya obuyumba kwabadde kugenda mu maaso ne wabaawo abaakoleezezza omuliro abantu abakolera mu kifo kino gwe balumiriza nti gwakoleezeddwa ab’ekitongole ky’eggaali nga kino kyawaliriziddwa abakwatibwako okuyita poliisi n’eguzikiza.

 


Ssentebe w’ekitundu kino, Samuel Aliku yagambye nti kyamwewuunyisizza okulaba ng’ab’eggaali y’omukka bamenya abatuuze be kuba yali yawandiikira Nabbanja basooke baggyewo abakolera mu mmita 10 ezaalagirwa, wabula si kye baakoze.
Omwogezi w’ekitongole kino,

 

Leon John Ssengendo yagambye nti abantu abakolera mu kitundu kino baali baalabulwa dda okukyamuka ne beesisiggiriza kwe kusindika abakozi ne bamenya obuyumba.


Yagambye nti waliwo abantu abaasazeewo okukuma omuliro okussaawo embeera nti ab’ekitongole ky’ggaali y’omukka be bagukumye ekitali kituufu. Poliisi ezikiriza omuliro yasitukiddemu okutaasa embeera.

Tags:
okumenya
eggaali y’omukka
Kireku.
Samuel Aliku
Leon John Ssengendo