ABATUUZE ku kyalo Kibanga mu muluka gw'e Vvumba mu kabuga ka Busiika mu disitulikiti ya Luweero nga bakolagana ne poliisi bakutte omu ku bavubuka abagambibwa okubatigomya nga babomola amayumba ne babanyaga.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti Ssekimpi bamusanze n'ennyondo eteeberezebwa okweyambisibwa mu kusima ebituli mu mayumba ne babba.
Omukwate era asangiddwa n'ensawo y'amanda egambibwa okuba enzibe era ebizibiti akuumirwa nabyo ku poliisi e Busiika ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Abatuuze mu bitundu eby'enjawulo bali ku bunkenke olw'ababbi ababayingirira omuli okumenya amayumba ne babba embuzi, enkoko n'emmwanyi.