Omusumba w'ekkanisa y'Abalokole e Rukungiri, akwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti yakuba n'alumya omu ku bakozi be.
Kigambibwa nti bino byaliwo wiiki ewedde ku Lwomukaaga omusumba bwe yasikambulako Joan Ssente ezaali mu kasero nga n'ekyaddirira kumukuba kikonde.
Kigambibwa nti era mu kanyoolagano ako, Omusumba yakasuka essimu ya Joan n'eyatika ng'amulumiriza okulya Ssente z'ekannisa.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime agambye nti eddembe ly'okusinza, terizingiramu bulyake na bukumpanya wadde okulumya omuntu era okunoonyereza, kugenda mu maaso.