POLIISI y’e Matugga eriko emmotoka ekika kya tipa gy’enunudde oluvannyuma ly’okujibbira e Kassanda n’egikwatira e Matugga nga bamaze n’okugikyusa nnamba ppuleeti.

Abamu ku baakwatiddwa
Okusinziira kw’akulira ba mbega ba poliisi ku poliisi y’e Matugga Patience Akiiki yagambye nti okutegeera emmotoka eno nti ebbiddwa kyavudde ku bananyini yo okugya nga bagyilondoola wabula nga bbo babadde banoonya emmotoka ekika kya tipa nnamba UBE 438L wabula nga mukutuuka ku poliisi ye Matugga ebadde ebaraga nti eriko parking webagyiwuumuzza.
Akiiki yagambye nga poliisi basobodde okugenda mu parking kyokka basoose kukalubirizibwa nga emmotoka gye boogerako ennamba puleeti teriiwo nga wano omukuumi ayitibwa Timothy yabagambye nti waliwo emmotoka ereeteddwa kyokka nga nannyini yo abadde ali mu kwebuzaabuza.
Basobodde okwetegereza emmotoka eno nga wano bannannyini yo be bagambye poliisi ng’emmotoka yaabwe bwe bagikyusizza nnamba puleeti nga babadde bataddeko nnamba UAU 751F.
Emmotoka eno eggyiddwawo era okusinzira ku poliisi egamba nti batandise okunoonyereza ani abadde agibbye.
Akiiki asabye abakulira ebifo we batereka emmotoka okugezaako okubuuza ebikwata ku bantu ababeera bazze abatereka emmotoka zino era nga mu kaseera kano etwaliddwa ku poliis y’e Matugga nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.