ABATEMU basse akulira ebyokwerinda ku kyalo Kasanje mu ggombolola y’e Kasanje mu mukula gw’e Sokolo mu Wakiso.
Eyattiddwa, ye Gerald Masagazi nga okumutta abatemu baamusanze ava ku kabaga
akaabadde kategekeddwa ssentebe w’ekyalo kino, Joseph Mulagwe.
Kigambibwa nti ku kabaga kano kwabaddeko abavubuka abaakoze effujjo ne bonoona ebitooke bya ssentebe, olwo Masagazi kwe kugenda okubang’anga wabula waayiseewo akaseera katono abatuuze ne bakuba enduulu nti difensi attiddwa. Omugenzi Masagazi abaddde wa kibina kya NRM ate ssentebe Mulagwe nga wa NUP nga kigambibwa nti gye buvuddeko abantu abatannategeerekeka baamusuulira kiro kitwala omunaku nga kuliko amannya g’abantu bataano abali ku kibiina kya NRM nga bali mu kitundu kye Sokolo n’ebyalo ebiriraanyeewo.
Omugenzi baamuttisizza nsuuluulu era omulambo gwe baagusanzeeko ebiwundu bisatu ebyamaanyi ku mutwe.
Ettemu lino lyasitudde poliisi y’e Ntebe eyakulembeddwa agiduumira, Moses Musigunzi ne batuka mu kifo kino era ne bakwata abantu bana babayambeko mu kunoonyereza. Masagazi yaziikiddwa e Mawugulu mu disitulikiti y’e Wakiso ku Ssande.