Amawulire

Poliisi ekutte 3 ku by'okumenya ennyumba y'omutuuze e Kyebando ne banyaga ebintu

Abantu basatu abagambibwa okumenya ennyumba y'omutuuze mu Nsumbi e Kyebando mu Wakiso ne banyaga ebintu ebiwerako bakwatiddwa.

Poliisi ekutte 3 ku by'okumenya ennyumba y'omutuuze e Kyebando ne banyaga ebintu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu basatu abagambibwa okumenya ennyumba y'omutuuze mu Nsumbi e Kyebando mu Wakiso ne banyaga ebintu ebiwerako bakwatiddwa.

Ebimu ku bintu bya bannamagye bye baabakutte nabyo.

Ebimu ku bintu bya bannamagye bye baabakutte nabyo.

Bano, kigambibwa nti babbye engoye ttivi, ssente 760,000/- n'ebintu ebirala.  Poliisi yatutte embwa n’erondoola abantu basatu okuli Ryan Lubega, Musa  Ssembuusi, ne Faizo Katamba era ne bakwatibwa.

Ebimu ku byambalo bye baabakutte nabyo.

Ebimu ku byambalo bye baabakutte nabyo.

Kigambibwa nti baasangiddwa n'ebimu ku bintu ebyefaananyiriza ebya poliisi n'amagye. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti omu ku bakwatiddwa, abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera ku misango gy'obubbi.

Abaakwatiddwa poliisi

Abaakwatiddwa poliisi

Tags:
Kyebando
Poliisi
Mutuuze
Kunyaga
Nnyumba
Kumenya