OMULONDOZI w'emirimu gya gavumenti mu maka g'obwa pulezidenti Yiga Kisakyamukama akutte abakozi ba gavumenti abasobye mu 10 e Gomba mu kaweefube gw'alimu ow'okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obwassemugayaavu mu bakozi ba gavumenti ez'ebitundu ne ku distulikitti.
Bino okubaawo kyaddiride okutuuza olukiiko olw'enkizo ku disitulikiti e Gomba nga ali wamu n'abakiiko abalwanyisa obukenuzi mu maka g'Obwapulezidenti.

Yinginiya w'amazzi e Gomba Geofrey Wamala eyakwattidwa omulondozi w'emirimu gya gavumenti mu ofiisi ya Pulezidenti Yiga Kisa Kyamukama
Kisakyamukama ye yakubirizza olukiiko era bakira abakulembeze ku distulikitti abavunanyizibwa ku mirimu egyenjawulo abookya kanjojji jjogi w'ebibuuzo ku nsaasaanya ya ssente ezibaweerezebwa ku disitulikiti n'engeri gye basobode okulondoolamu enkola y'emirimu.

Abamu ku bakozi ba gavumenti e Gomba abaakwatiddwa
Mu lukiiko luno era kyazuuliddwa nti ebibbira bya gavumenti 2 , okuli ekya Kalo ne Sembula, abakulembeze mu disitulikiti babyeguza mu ngeri ey'olukujjukujju nti n'abamu ku banene mu majje beefunyiride okusima omusenyu e Gomba mu ngeri y'obumenyi bw'amateeka, nga tewali yadde abakuba ku mukono.
Ate bo bayinginiya mu disitulikitti eno abawerera ddala nabo baakwatiddwa nga okusinga baavunaaniddwa gwa kuduumuula ssente ze baakozesa okuzimba nnayikondo nga eno kyazuuliddwa nti yazimbibwa mu ttale etali bantu wabula nga yawemmenta ssente obukadde 49 .
Oluguudo oluva e Kifampa okutuuka e Kisozi nalwo lwateredwako akabuuza kungeri gyerwazimbibwa nga kwotadde n'ebibiina ne ttoyi za masomero ebyazimbibwa kubbeeyi eyawagulu ennyo nga okuddabiriza ebibiina 3 byokka kwamalawo obukadde 80.

Abamu ku bakozi ba gavumenti e Gomba abaakwatiddwa
Akatale k'e Maddu nako bakemukugunyizako nti ssente ez'akazimba zali za gavumenti era zaddumulwa nnyo 'obukadde 700' kyokka ebyenaku katudde kuttaka lyabwananyini era nti abasuubuzi basasuzibwa ssente mpitirivu ez'empooza n'emisolo okukakoleramu .
Kisa Kyamukama yekokodde obubi n'enkola y'emirimu eyagadibye ngalye mukitundu kyenyini e Gomba gyazalibwa era nawera nti buli muli wanguzi bakumufitiza .
Yakattiriza nti abakulembeze abakwattidwa bakudda mu offiisi nga bamaze okubanoonyerezako.
Omubaka wa Pulezidenti e Gomba, Ronald Katende yasanyukidde enkola eno ey’okulondoola emirimu gya gavumenti nti yaakuyambako nnyo okwongera okusisimula abakulembeze okuva mu tulo naye okusingira ddala okutereeza eby'obuweereza mu bantu.