Amawulire

DNA etabudde abafumbo ne beefubutula mu luguudo

SSEMAKA eyakoze DNA, awazeewaze mukazi we okumuyisa mu kibuga wakati okumuzza mu bakadde ng’agenda amuyombesa olw’okuzaala ebbali, nga n’omukazi bw’amuddiza omuliro nti, naye yazaala dda ebbali, ne bagwa ‘draw,’ (soma dulo).

Mugizi ne Nuwamusiima nga beesojja mu luguudo
By: ALI WASSWA, Journalist @New Vision

SSEMAKA eyakoze DNA, awazeewaze mukazi we okumuyisa mu kibuga wakati okumuzza mu bakadde ng’agenda amuyombesa olw’okuzaala ebbali, nga n’omukazi bw’amuddiza omuliro nti, naye yazaala dda ebbali, ne bagwa ‘draw,’ (soma dulo).


Ssemaka Baylon Mugizi, 37 ow’e Kyengando -Kiziba mu ggombololola y’e Kagango, ye yatutte mukyala we gw’alinamu abaana abana nga bagobaganira mu kibuga okumuzza ewaabwe, bwe yakoze DNA n’azuula nga kuliko omwana omu atali wuwe.


Okukebera abaana, Mugizi yasoose kwekengera ntambula za mukyala we gw’alumiriza okubaliga nga ne bw’amukolera bizinensi, tanywererawo abaako awalala gye yeewungula.

 

Bwe yanyiize obulungi, Mugizi yasabye mukyala we ono, Edwinlive Nuwamusiima adde ewaabwe mu mirembe n’agaana ekyavuddemu kugezaako kumwebagajja n’adduka gye byakkidde nga batandise kugobaganira mu kibuga ng’agenda amutaayiza adde gye bamuzaala.

 

Nuwamusiima ono eyagenze ayogera ebingi mu kkubo nga ne bba bw’amuddamu, muwala wa Ssaabadinkoni mu bulabilizi bwa West Ankole. Nuwamusiima y’omu ku bayimba ennyimba z’eddiini ng’abadde apangisibwa ne ku mikolo okusanyusa abantu.


Mugizi anenya mukyalawe gw’agamba nti yatuuka n’okwepangirisiza ennyumba mu kibuga Kabwohe, era wano we yatandikira n’okubuusabuusa entambula ze.


Omwami agamba nti, yakwata ssente obukadde 10 n’aziwa mukyala we akole saaluuni kyokka kyamubuukako okusanga nga yagitunda n’agenda okupangisa enju mw’abadde asula.


Nuwamusiima abadde tali mu kuyimba nnyimba za ddiini zokka, wabula aludde nga mukiise ku ggombolola ng’akiikirira abavubuka ku ludda lw’abawala.


OMUKAZI AMUDDIZA OMULIRO

Wakati mu kugobaganira mu kibuga Kabwohe, Nuwamusiima naye yagenze alangira bba nti y’amanyi gye yabiggya nti, yamugattiramu omwana atali wuwe ekyamuviiriddeko okukola DNA.


Yamulangidde nti ye, Nuwamusiima yekka y’asobola okumanya ekituufu ku mwana gw’agamba nti yasuuliddwa endagabutonde era kitaawe omutuufu y’oyo kennyini, Mugizi.


Yagasseeko nti, musajja we yayingirira obwenzi n’akyuka kubanga naye alina omwana wabweru, noolwekyo abakazi baamukyusizza omutima.


Bazadde b’omusajja baategeezezza nga bwe baagezaako okumuwabula aleke omukyala ono kyokka yafuuka kizibu nga tabawuliriza nga ne mu kibuga Kabwohe teri atamumanyi olw'enneeyisa ye eteri nnyangu.

Tags:
DNA
abafumbo
Baylon Mugizi