KKOOTI ey’oku ntikko egobye ekusaba kw’okujulira okw’omuserikale wa poliisi, Jaden
Ashraf n’omukazi Sandrah Nakungu kwe bassaamu nga bawakanya ekibonerezo ky’emyaka 20 egyabaweebwa ku by’okutta omusubuuzi Eriya Ssebunya Kasiiwuukira.

Jyaden
Kasiiwuukira yattibwa nga October 17, 2014 e Muyenga, mmotoka bwe yamukoona ng’akola dduyiro ku makya n’afiirawo mu ngeri egambibwa nti yali mpange era mukazi we n’ababiri bano baakwatibwa kyokka mukazi we yejjeerezebwa olw’obutabaawo bujulizi.
Kkooti yakakasizza ekibonerezo ky’emyaka 20 ekyabaweebwa n’ekkatiiriza ensalawo ya kkooti ejuliwamu.

Nakungu
Ensala y’abalamuzi eno eyongera okukakasa nti omuntu avunaanibwa ssekinoomu emisango gy’abaazzizza okusinziira ku bujulizi obubeera buleeteddwa oludda oluwaabi era okwejjeereza omu ku bawawaabirwa ababeera baleeteddwa mu kkooti tekitegeeza nti n’abalala abavunaanibwa baakwejjeerezebwa.
Bano baajulira nga bagamba baabasingisa emisango egitatuukiridde, ne bataweebwa mukisa kuleeta babawolereza kyokka byonna kkooti yabigobye.
Obumu ku bujulizi obwasingisa bano emisango kuliko obutambi bw’ebifaananyi obwaleetebwa nga Jaden agezaako enfunda bbiri okutta Kasiiwuukira kyokka n’alemwa.
Ababiri bano baali baajulira nga bagamba emisango tegiyinza kubasinga ate eyakuliramu olukwe lwonna ne yejjeerezebwa. Abalamuzi baagambye nti Nakungu ne Jaden baaweebwako obujulizi obutaliiko kubuusabuuza
kwonna.
Abalamuzi bano kuliko; Prof. Lillian Tibatemwa Ekirukubinza, Night Percy Tuhaise, Mike
Chibita, Stephen Musota ne Monica Mugenyi.