Amawulire

Poliisi eremesezza okwekalakaasa kwa PLU

BBULOOGA Fred Kajubi Lumbuye alabuukiridde enteekateeka z’okumukwata n’adduka mu kifo w’abadde abeera ne yeeyongerayo ku nsalo ya Turkey ne Greece.

Aba poliisi nga batangira abawagizi ba PLU okutuuka ku kitebe kya Turkey e Kololo.
By: Badru Mugenyi and ne LAWRENCE KIZITO , Journalists @New Vision

BBULOOGA Fred Kajubi Lumbuye alabuukiridde enteekateeka z’okumukwata n’adduka mu kifo w’abadde abeera ne yeeyongerayo ku nsalo ya Turkey ne Greece.


Okusinziira ku mikwano gya Lumbuye egy’oku lusegere, ebigenda mu maaso wakati wa Turkey ne Uganda byamweraliikirizza nnyo, n’alaba ng’akaseera konna bandimuwaayo, kwe kutandika okusala amagezi.

Fred Kajubi Lumbuye

Fred Kajubi Lumbuye


Mu magezi ge yasaze, kwe kudduka w’abadde abeera mu Turkey, ne yeeyongerayo ku nsalo ya Turkey ne Greece, era yatandise okukola ku biwandiiko ebimuyingiza e Greece, asobole okwekukuma obulungi.


Mikwano gya Lumbuye era gyatubuulidde nti ku nsalo ya Greece teyagenze yekka. Waliwo Munnayuganda omulala Badru Mutyaba, omuwagizi wa NUP nga naye kigambibwa nti anoonyezebwa gavumenti, bwe bali ne Lumbuye mu kiseera kino nga bwe bayiiya eky’okusala ensalo badde mu Greece.


Bwe bayingira Greece, baba bafunye obuweerero bwa maanyi nnyo kubanga Viza ekuyingiza eggwanga lino ekuwa ebbeetu okuyingira amawanga agasinga agali mu mukago gwa Bulaaya.


EKIWANDIIKO EKISABA OKUMUKWATA KITUUSE E TURKEY

Bukedde yakitegeddeko nti ekiwandiiko kya Uganda ekisaba Turkey okuwaayo Lumbuye kyatuuse dda mu minisitule ya Turkey ey’ensonga z’ebweru, era kati Uganda erinze kuwulira kiddirira ku ludda lwa Turkey.


Omukungu omu agoberera ebya Lumbuye mu gavumenti (amannya gasirikiddwa), yategeezezza Bukedde nti ku Lwokuna omubaka wa Turkey mu Uganda yasisinkanye Pulezidenti Museveni n’amukakasa nti ekiwandiiko ekitongole ekisaba Turkey okukwata Lumbuye (Diplomatic Requisition) kyatuuse dda ku bakulu mu Turkey era bagenda kusalawo eky’okukola.


Akulira ofiisi ya ssentebe wa PLU, David Kabanda mu mboozi ey’akafubo gye yabaddemu ne Bukedde yagambye nti ku mulundi ogwasooka, okwekalakaasa baakusazaamu nga Turkey egamba nti Uganda tegitegeezanga mu butongole misango ki gy’evunaana Lumbuye, kigiyambe okufuna w’etandikira.


Kino baakikola mu butongole ne bawaayo emisango egivunaanwa Lumbuye mu butongole, kyokka Turkey n’esigala ng’esirise.


Kabanda agamba nti Lumbuye gavumenti emuvunaana okusekeeterera gavumenti eri mu mateeka, okukozesa ebigambo eby’obusagwa okusiga obukyayi mu bantu, ekiyinza okuvaako obutabanguko, okukunga abantu okuggyako gavumenti mu ngeri emenya amateeka, okukozesa obubi emikutu emigattabantu n’ekigendererwa eky’okwawulayawula mu ggwanga, n’emirala.


OKWEKALAKAASA KWA PLU KUGGAZZA EKITEBE KYA TURKEY

Eggulo ku Lwokutaano, Turkey yaggadde ekitebe kyayo mu Uganda okumala olunaku lulamba olw’okwekalakaasa kwa PLU ng’ewakanya Turkey okugaana okuzza Lumbuye.
Mu kiwandiiko kye baafulumizza ku Lwokuna akawungeezi, baagambye nti olw’okwekalakaasa okwabadde kutegekeddwa, baasazeewo ofiisi okuziggala okumala olunaku lulamba, Olwokutaano lwonna.


Ssaabawandiisi wa PLU era omubaka wa Tingey County, Twalla Fadil, ye yakulembedde okwekalakaasa nga baasimbudde ku kisaawe e Lugogo.


Twalla yasoose kwogerako na baamawulire nga tannakulemberamu kwekalakaasa, n’agamba nti Uganda terina buzibu na bannansi ba Turkey, wabula obuzibu ebulina na gavumenti ya Turkey, egaanyi okuzza Lumbuye awerennembe n’emisango gye egimuvunaanibwa.


Yayongeddeko nti Uganda essa ekitiibwa mu mateeka g’ensi yonna, naye abantu balina okukitegeera nti Lumbuye e Turkey teyagendayo nga munoonyi wa bubudamo. Yagenda kukola, kyokka bwe yatuuka eyo, n’atandika okuzza emisango ku Uganda ng’asinziira e Turkey.


Amateeka g’ensi yonna, Twalla yagambye nti tegagaana kuzza muntu afaanana nga Lumbuye atali munoonyi wa bubudamo, era Turkey ekola kikyamu okumulemera.
Era yalabudde Turkey nti singa eneegaanira ddala okukomyawo Lumbuye, Uganda egenda kuddamu okwekenneenya enkolagana yaabwe, kubanga bo baagala enkolagana nga be bagifunamu, naye Uganda nga tefunamu.


Enkola y’okwekalakaasa Twalla yannyonnyodde nti Gen. Muhoozi si gy’ayagala, wabula amaze kusoberwa oluvannyuma lw’okugezaako amakubo gonna ne gagaana.


POLIISI OKWEKALAKAASA EKULINNNYEEMU EGGERE

Aba PLU baabadde bayolekera ekitebe kya Turkey mu Uganda ekisangibwa ku Prince Charles Drive e Kololo, Poliisi n’esuula emisanvu ku luguudo lwa Impala Avenue, n’ebagaana okweyongerayo.


Yakkirizzaako Twalla, n’amyuka dayirekita w’okukunga, Henry Basaliza, be baba batuuka ku kitebe kya Turkey, baweeyo ekiwandiiko omuli okwemulugunya kwabwe.


Wabula bwe baatuuseeyo, baakomyewo n’ebbaluwa yaabwe mu ngalo, ne bagamba nti be baasanzeeyo ku kitebe baabagambye nti tebamala gakwata buli bbaluwa, ne babasindika bagitwale mu minisitule y’ensonga ez’ebweru, yo ejja kugibatuusaako mu nkola entuufu.

Tags:
PLU
okwekalakaasa
Poliisi
Lumbuye