ABAAWAABA nga bawakanya ebyalangirirwa akakiiko k’ebyokulonda n’obuwanguzi bw’abo be baali bavuganya kukyagenda mu maaso.
KKOOTI EGOBYE OGWA SSEMPIJJA
Omubaka wa Kalungu East, Yusuf Kiruluuta Nkerettanyi asambira nnyuma, kkooti bw’egobye omusango gw’abadde ayagala okumusuuza ekifo. Eyali minisita w’ebyokwerinda,Vincent Ssempijja yawawaabira Nkerettanyi ng’agamba yamubbako obuwanguzi bwe, n’asaba kkooti okubala obululu kuddibwemu kyokka kkooti yasanga obubookisi bwataataaganyizibwa ne kusazibwamu.
Ssempijja teyamatira n’assaayo omusango basazeemu obuwanguzi bwa Nkerettanyi kyokka omulamuzi Joyce Kavuma mu nsala ye yagambye nti Ssempijja okuwaaba kwe yakussaamu kikeerezi omusango n’agugoba.
Ensala ya Kavuma yasomeddwa Roy Karungi eyagambye nti emisango gy’ebyokulonda girina ebbanga lya nnaku 30 atamatidde mw’alina okuloopera ng’eyalangirirwa amaze okukubwa mu kyapa ky’eggwanga. Nkerettanyi yateekebwa mu kyapa March 2, 2026 ate ng’ennaku ez’okuwaaba zaali ziggwaako nga April 1 kyokka Ssempijja n’awaaba enkeera April 2.
NALUBOWA ANNYONNYODDE ENGERI GYE BAAMUBBAMU
Rose Nalubowa yasoyezeddwa ebibuuzo ku ngeri gye baamuggyako obuwanguzi bwe ne buweebwa minisita omubeezi owa Gavumenti z’ebitundu, Justine Nameere.
Bannamateeka ba Nameere okuli Sam Sekyewa be baabuuzizza Nalubowa ebibuuzo n’asalawo okuva awaali wabalirwa obululu oluvannyuma lw’omulamuzi okulya mu bigambo bwe yagamba nti ssinga basanga bookisi ensumulule okubala tekugenda kukolebwa ate oluvannyuma lw’okukizuula, ate era n’agenda mu maaso n’okubala.
Ono yakakiddwa okuleeta obujulizi ku bukakafu obulaga nti yali mu kifo kino ne baagenti be, n’agamba nti ku nkalala kwe bassa emikono, bageezaako okuzisaba kkooti n’ezibbamu nga tebaalina ngeri gye bayinza kuzifunamu.
Kalumannywera yazze ku katambi akaleetebwa Nalubowa nga kalaga ebifo 4 ebyateekebwawo mu kuddamu okubala obululu ng’agamba nti omulamuzi Asiimwe yali tasobola kubirambula byonna bwatyo obuyinza n’abulekera abantu abalala era wano bannamateeka ba Nameere bagezezzaako okukawakanya wabula oluvannyuma omulamuzi Bernard Namanya n’akakkiriza.
Wadde bannamateeka ba Nameere mu kusooka bakkiriziganya ku bajulizi 11, eggulo beefudde nga bagamba beetaaga bana bokka okwabadde Nalubowa omuwaabi, Maurice Matovu eyali akulira baagenti, Deogratius Bukenya eyakwata akatambi ne Bernard Nyanzi ono nga mukozi e Makerere eyataputa akatambi akakwatibwa.
HILDERMAN AYAGALA AMELIA AMUWE EMPAPULA KWE BAAMULANGIRIRA
Okuwulira ogw’eyali omubaka wa Mawokota North, Hillary Kiyaga ‘Dr Hilderman’ kwatandise mu maaso g’omulamuzi Jameson Karemani mu kkooti e Mpigi.
Hilderman yayise mu bannamateeka aba Lukwago & Co. Advocates ne Ssebbowa & Co. Advocates n’asaba kkooti ebakkirize basooke bafune ebiwandiiko eby’enkizo bye basabye Amelia okuli empapula akakiiko k’ebyokulonda kwe baasinziira okumulangirira ku buwanguzi.
Hilderman alumiriza Amelia okwekobaana n’akakiiko okufutyanka obuwanguzi bwe. Munnamateeka wa Kyambadde, Anthony Bazira, yategeezezza kkooti nti bannamateeka ba Kiyaga okusaba bakusse mu buwandiike kibanguyize okufuna empapula ze baagala okuva ew’omuntu waabwe. Omulamuzi waakuwa ensala nga September 30, 2026 oba akkiriza okusaba kwa Hilderman.
Bino we bijjidde nga kkooti yaakamala okugoba okusaba okwali kwasibwayo Dr. Hilderman ng’ayagala kkooti eragire akakiiko k’ebyokulonda kaweeyo ebiwandiiko eby’enkizo bye kaakozesa mu kulondesa saako n’okulangirira omuwanguzi mu kalulu kano.