Amawulire

Bbanka ziraze bizinensi z’okudduukirira

ABASUUBUZI balagiddwa bizinensi omugenda okuteekebwa ssente ezitaliiko magoba mangi okubayamba okusitula ebyenfuna n’ennyingiza yaabwe.

Micheal Mugabi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUUBUZI balagiddwa bizinensi omugenda okuteekebwa ssente ezitaliiko magoba mangi okubayamba okusitula ebyenfuna n’ennyingiza yaabwe.
Bino byabadde mu lukung’aana omwegattira bbanka ez’enjawulo mu ggwanga olwatuumiddwa the 9th Annual Bankers’ Conference.

Abakulira bbanka n’ebitongole eby’enjawulo munda n’ebweru w’eggwanga, abalwetabyemu bakkaanyiriza okutandika okuwola ssente abantu ssekinnoomu ne kkampuni ezirina bizinensi ezigwa mu bitongole okuli; eky’obulimi, eky’obulambuzi, eky’obugagga obw’omu ttaka, ekya ssaayansi ne tekinologiya, eby’amazzi n’obutonde bw’ensi n’ekigendererwa ky’okusitula ennyingiza y’abantu n’okuyambako gavumenti okutuukiriza enteekateeka z’okusitula ebyenfuna by’eggwanga. Henry Musaasizi, yasabye bbanka n’ebibiina ebiwola ensimbi okusala ku magoba ge biweerako abantu ba bulijjo ne bizinensi. Yasabye ebbanga eriweebwa abantu naddala abali mu bizinensi okuli ey’ebyobulimi, amakolero n’okusima eby’obugagga obw’omu ttaka, lyeyongereko waakiri libeere wakati w’emyaka 10 okutuuka ku 25. Micheal Mugabi, akulira ekibiina kya Uganda Bankers’ Association- UBA, yakakasizza nti, emirimu egyabalagiddwa gavumenti bagenda kugiteekamu ensimbi n’emirala okuli; egy’obuvubi, eby’okusaabaza abantu ku nnyanja, egy’okusimba emiti wamu n’okutunda ebintu ebikozesa amasannyalaze g’enjuba.
Akulira Bbanka Enkulu, Micheal Atingi Ego yasiimye enkola eno ng’ejja kuyamba abantu okugaziya enfuna yaabwe.

Tags: